Akakiiko akaggya akakulira ebyobulamu mu Bwakabaka bwa Buganda katongozeddwa, nekasabwa okubaga enteekateeka y’okutumbula ebyobulamu mu Bwakabaka.
Bw’abadde atongoza Boodi eno mu Butikkiro , Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti okutumbula ebyobulamu kye kimu ekiraga nkulaakulana y’eggwanga, wabula nga kirina kutandikira mu bantu babuligyo kwekolamu mulimu, okulwaanyisa endwadde enyangu okumegga.
Katikkiro asabye boodi empya okumanya nti ebyafaayo by’Obwakaba eri Ebyobulamu mu Uganda eyawamu byava dda nnyo, babitambulizeeko Obuvunaanyizibwa obubaweereddwa.
Minister wÉbyobulamu mu Bwakabaka Owek Chotilda Nakate Kikomeko, yebazizza boodi ewummudde olwokuteeka ettoffaali eddene ku kisaawe kyÉbyobulamu mu Buganda.
Boodi empya ekulemberwa Dr. Nassanga Jane Ruth nga ye ssentebe waayo, azze mu bigere bya Dr. Fredrick Mutyaba ssentebe omuwummuze, omumyuka wa ssentebe omuggya ye Dr. Kakooza Francis.
Ku ba memba ba boodi empya kuliko Dr. Nicholas Mugagga akulira eddwaliro lya St Joseph’s Hospital e Wakiso, Dr. Abbas Kabugo, Kalungi James Kamanje ,Dr. Naluggya Betty, Venatious Bbaale Kirwana, Mubiru Micheal ne Francisca Kakooza munnamateeka.