Ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga nate ezizza buggya endagaano ( service Level Agreement) gyeyakola ne bank of Uganda, ey’okukolaganira awamu mu ntambuza yemirimu gya government naddala mu by’ensimbi.
Endagaano eno erambika obuvunanyizibwa bwenjuyi zombi eziri mu ndagaano eno okuli bank enkulu ey’eggwanga ne ministry yebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga.
Governor wa bank of Uganda Michael Ating Ego kulwa bank enkulu yataddeko omukono, so nga Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi era avunanyizibwa ku ggwanika ly’eggwanga Ramathan Ggoobi yataddeko omukono kulwa ministry yebyensimbi.
Omukolo gw’okuteeka emikono ku ndagaano rno gukoleddwa ku ministry y’ebyensimbi mu Kampala.
Etteeka erifuga entambuza y’ensimbi n’enkozesa yaazo erya Public Finance Management Act lyagyawo ebitongole bya government okubeera ne accounts mu bank z’ebyobusuubuzi, account zebitingole ebyo nezitwalibwa mu bank enkulu ey’eggwanga, eno government gyesasulira buli nsimbi gyeyagala okusasula.
Endagaano no ekoleddwa erimu okulambika engeri accounts za government eziri mu bank enkulu gyezinakwatibwamu, engeri y’okufunamu n’okusindiika ensimbi ku account endala,engeri yokusasulamu ababanja government n’ebirala.
Endagaano eno era erambika bank of Uganda gyenaawolamu government ensimbi okusasula abagibanja, olwo government bwefuna ensimbi neryoka esasula bank.
Ensimbi government zekuηaanya mu misolo, zeefuna okuva mu bagabirizi b’obuyambi saako zefuna okuva mu kwewola zonna ziyita mu bank enkulu, olwo neziteekebwa ku account y’eggwanika oba ekittavu ky’eggwanga, oluvannyuma nezigabanyizibwa ku account z’ebitingole bya government.
Mu mbeera yeemu, n’okusasula amabanja ga government gezze yeewola munda mu ggwanga n’ebweru waayo ,kukolebwa okuyita mu bank enkulu ey’eggwanga
Mu kiseera kino bank of Uganda eriko ensimbi zeebanja government eziri eyo mu trillion ne trillion, nga zino bank eno yazisasula abaali babanja government.
Endagaano eno eziddwa obuggya wakati wa bank enkulu ey’eggwanga ne ministry yebyensimbi ebadde yakoma okussibwako emikono y mu biseera bya COVID 19.#