Abasuubuzi abamu baggaddewo amaduuka gabwe mu kibuga Kampala, nga balumiriza ebitongole bya government ebyenjawulo okubanyigiriza n’okubalemesa business zabwe.
Amaduuka agaggaddewo agasiinga gali ku luguudo Nabugabo, n’agamu gali mu kikuubo.
Waliwo abamu ku basuubuzi abakwatiddwa police nga kigambibwa nti babadde bagenda bakunga abasuubuzi abalala babeegatteko mu kwekalakaasa.
Abasuubuzi bawakanya engeri ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority gyekikwatamu ensonga zabwe, omusolo ogusukkiridde, abachina abeyongedde mu busuubuzi obukolebwa bannansi saako ekitongole ekivunaanyizibwaku by’omutindo ki Uganda National Bureau of Standards kyebagamba nti nakyo kyetaaga okutereeza engeri gyekikwatamu ensonga z’abasuubuzi .
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma Kituuma yategeezezza Bannamawulire nti eteseganya zikolebwa wakati w’abakulembeze babasuubuzi, n’ebitongole bya government ebikwatibwako okugonjola ensonga zino.
Akolanga Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya KACITA Hajji Isa Ssekitto yategeezezza nti ministry omubeezi ow’rbyobusubuzi David Bahat yamuwandiikidde era bakyayogeraganya okulaba nga bagonjoola ensonga.
Isa Ssekito ategezeza cbs nti ebiruma abasubuzi bingi ate nga bamaze akaseera nga babyogerako, kwekusaba government okubiteeka ku mwagyo abasuubuzi bakole emirimu gyabwe ewatali kunyigirizibwa .
Abasuubuzi baasisinkana omukulembeze w’eggwanga e Kololo nebabako byebamunyonyola, wabula bagamba nti okuva olwo ensonga zabwe tezakolebwako.#