Police ye Kasangati eri ku muyiggo gw’abazigu ab’emmundu abasindiridde abantu babiri amasasi mu bitundu bye Kitagobwa ku luguudo lwe Nangabo Kasangati mu Wakiso, omu gamuttiddewo.
Abazigu bano baalumbye edduuka lya Bwanika Deo mu kiro nga befudde abagula ebintu, wabula bwebalabye tewakyaali bantu babalaba nebamwefuulira nebamukuba amasasi agaamuttiddewo,kwossa okukuba omukozi ategerekeseko erya Julius amasasi mukugulu era ono baamulese ataawa.
Abazigu bano ab’emmundu babadde batambulira ku pikipiki era nga babadde 6 nga bambadde obukokolo, nga tosobola kubategeera ndabika yabwe.
Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye bakyagezaako okwekenneenya ebyabaddewo, wabula nga ye eyakubiddwa amasasi ku magulu agenda akuba ku matu.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif