Abatendesi ba ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere egenda okuvuganya mu mpaka za Africa Nations Championship CHAN ez’omwaka guno 2025, Morley Byekwaso ne Fred Muhumuza, balangiridde ttiimu eyenkomeredde y’abazannyi 25 egenda okuvuganya mu mpaka zino.
Enkambi ebaddemu abazannyi 29, wabula abazannyi 4 basuuliddwa okusigaza abazannyi 25.
Allan Okello akakasiddwa ku bwa captain bwa ttiimu eno.

Ku bazannyi 25 abasuunsuddwa okuzannya CHAN, KCCA erinako abazannyi 8, Vipers abazannyi 7, Villa Jogo Ssalongo abazannyi 4, Kitara ne BUL zirinako abazannyi 2 buli emu, ate NEC evuddemu omuzannyi omu.
Abakwasi ba goolo ye Joel Mutakubwa, Crispus Musiima ne Dennis Kiggundu.

Abazannyi abalala ye Usama Arafat owa KCCA, Marvin Youngman owa Vipers, Gedion Odongo owa NEC, Herbert Achai owa KCCA, Patrick Jonah Kakande owa Villa Jogo Ssalongo, Yunus Ssentamu owa Vipers, Jude Ssemugabi owa Kitara, Joel Sserunjogi owa KCCA n’abalala.

Uganda Cranes mu mpaka za CHAN eri mu kibinja C ne Algeria, Niger, Guinea ne South Africa, era egenda kuggulawo ng’ettunka ne Algeria nga 04 August,2025 mu kisaawe e Namboole.
Empaka za Africa Nations Championship CHAN zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania okuva nga 02 okutuuka nga 30 August,2025.
Empaka zino zetabwamu abazannyi abazannyira mu liigi z’ewaka bokka, era Senegal be bannantameggwa b’empaka ezasembayo.