Ssaabawandiisi wa Sacco y’abasomesa eya Uganda Liberal Teachers’ Union Members SACCO, Twinomujuni Nathan Kakson asiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, agguddwako emisango gy’okwefuula kyatali n’okwekobaana okubulankanya sente za Sacco eziwera akawumbi ka shillingi kamu n’obukadde bisatu mu ataano ( shs 1.35b).
Twinomujuni asiindikiddwa ku alimanda okutuuka nga 03 September, 2025.
Twinomujuni yegasse ku Muteesasira Evans Kaganizo ssentebe wa Sacco yeemu, saako omusuubuzi Esiingwa Hassan, director wa Hansem Technical services Limited abawerennemba n’omusango gwe gumu, wabula bbo bavunaanibwa kubulankanya obuwumbi bwa shilling busatu n’obukadde lukaaga ( shs 3.6b).
Ensimbi ezibavunaanibwa kigambibwa nti zeezimu ku buwumbi bwa shs 30, President Yoweri Kaguta Museveni zeyawa Sacco y’abasomesa bazeewole bekulaakulanye.#