Abavubuka mu Buganda naddala abayizi b’amasomero bajjumbidde ekyoto ekitegekeddwa ku mbuga y’essaza Kyadondo e Kasangati, ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aga 32.
Ekyoto kitambulidde ku mulamwa ogw’okusomesa abavubuka okwewala mukenenya, nga gwesigama ku mulamwa gw’amatikkira ogwa wamu, ogw’okukubiriza abasajja okubeera abasaale mu kulwanyisa siriimu nga bataasa abaana abawala.
Omumyuka owokubiri owa Kaggo Dr. Phiona Nakalinda alabudde ku basajja abakyalemedde ku muze gw’okuganza abaana abato nebabasiiga mukenenya, ate nabo nebamusiiga abalenzi abato ab’emyaka gyabwe, ekiviiiriddeko mukenenya okukendeera akasoobo.