Abategesi b’ebivvulu nabo bagobeddwa obutaddamu kulinnya kigere mu maka ga Gen.Salim Saleh – CBS FM

Date:

Omuwabuzi wa president ku nsonga z’ekinnamagye era omukwanaganya w’ekitongole kya Operatiion Wealth Creation Gen Caleb Akandwanaho amanyiddwanga Gen Salim Saleh aweze abategesi b’ebivvulu obutaddamu kulinnya mu makaage ege Gulu, nti ng’abalaanga kusiwuuka mpisa.

Abategesi b’ebivvulu  nga bakulembeddwamu Abbey Musinguzi amanyiddwanga Abitex, kigambibwa nti baabadde bagenze Gulu n’ekigendererwa ekyokusisinkana Gen Saleh babeeko byebamunyonyola n’okumusaba ku nsimbi, nti olw’ebivvulu byabwe byebaateekateeka nebibasala.

Captain Wilson Kato Agaba omwogezi wa Operation wealth Creation agambye nti abategesi bebivvulu abo baazinzeeko amaka ga General Sale nga tebayitiddwa, wadde okusaba olukusa neboolesa zaayise empisa ensiiwuufu.

Captain Agaba agambye nti Gen Sale yawaliriziddwa okuyita Police okukakanya embeera, naagamba nti embeera eno omukulu kweyasinzidde nabawera obutaddamu kulinnya mu makaage.

Wabula Mu katambi akasaasaanidde emitimbagano, Abitex abyabatuuseeko abinyumya nga lutabaalo, olw’abebyokwerinda okubasalako era nebatasobola kwogera na mukulu.

Gyebuvuddeko era  Gen. Sale yagoba abayimbi nebannakatemba obutaddamu kulinnya mu makaage e Gulu.

Yabalagira ensonga zaabwe baziyiseenga ew’omuwabuzi wa president ku nsonga zebiyiiye n’abayimbi Edriisa Musuuza amanyiddwanga Eddie Kenzo, nti yaaba azimutuusaako.

Mu mbalirira y’eggwanga eyomwaka gwebyensimbi guno 2025/2026, ekisaawe kyakatemba, ebiyiiye n’ennyimba kyaweebwa obuwumbi bwa shs 66 okutambuza emirimu, era ensimbi zino zezivaako kaluma nyweera mu bayimbi , nga buli omu yebuuza azivunaanyizibwako, nekyezirina okukola ekituufu.#

Share post:

Popular

Also Read

Mikie Winie Explains Absence At His Brother Bobi Wine’s Political Rallies

Musician Mikie Wine has found himself at the center...

Renah Nalumansi Decries Bars That Judge Bands by Social Media Following

Musician Rehan Nalumansi has expressed her disappointment with bar...

Jenva Set to Shake the Airwaves with His New Hit “No Way”

Uganda’s music scene is on fire again, and this...

Wakiso: Independents outnumber party flagbearers as nominations close

The just-concluded nomination process for parliamentary candidates in Wakiso...