Akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka g’obwa President aka State House Anti Corruption Unit kakutte abantu 8 ku bigambibwa nti baafeze eyaliko omubaka wa Parliament mu ggwanga lya Nigeria, emitwalo gya Dollar za America 70,000 bwebukadde bwa Uganda obusuka mu 200 nga bamusubiza okumuguza zaabu.
Eyafereddwa yaliko omubaka wa Parliament mu ggwanga lya Nigeria emirundi 2 miramba, era olwokuba okunonyereza ku kyagenda maaso asabye amanya ge gagira gasirikirwa.
Abakwatiddwa kuliko bannUganda n’omuCongo bagiddwa mu bitundu bye Muyenga mu Kampala ewagambibwa nti gyebabadde basinzira okufera bamusiga ensimbi nti balina zaabu .
Kigambibwa nti babadde bakolera mu kampuni bbiri okuli Legacy Refinery Company Limited ne Emerod Co Limited nga zonna zisangibwa Muyenga.
Abakwate ye Tibasiima Barbra oluusi yeyita Katushabe Sharon nga munnaUganda, era abadde Muwandiisi mu Emerod Co Limited, omulala ye Paluku Kisasi nga munnansi wa Congo nti abadde yeyita kituunzi wa zaabu, Safari Akonkwa munnansi wa Congo,Isaac Mpende nga naye ava mu ggwanga lya Congo ,Abdul Madjid Kahirima munnauganda,Mpenge Isaac wa Congo ,Mabwongo Prince nga naye wa Congo ne Kajjubi Kyome nga munnaUganda era abadde akolera kampuni ya Emerod Co Limited.
Omukungu mu akakiiko ka Anti Corruption Unit Bamwine Muhoorozi ku lwa senkulu wakyo Brig Gen Henry Isoke asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku office za kakiiko kano mu Kampala, naategeeza nti munnansi wa Nigeria yeyekubidde enduulu mu kakiiko kano, ngq yemulugunya ku nneyisa y’abakwatiddwa.
Bamwine Muhoorozi ategezeza banamawulire nti abakwatte bagenda kugulwako emisango 4 omuli okuggyq ssente ku Musiga ensiimbi mu lukujjukujju, okwefuula kyebatali , okwenyigira mu kutunda zaabu nga tebalina licence n’ebirala.
Wabula asabye bannauganda obutalimbibwa era bakozese ebitongole ebyatekebwawo government okubaweereza.#