Police e Kamuli mu Busoga etandise okunoonyereza ku nfa y’abantu babiri abasangiddwa nga bafiiridde mu nnyumba zabwe mu kiro kye kimu ekikeezezza leero nga 23 July,2025.
Abagenzi kwekuli Angulia Ronald 55, owe Buwaanume ne Mpaabe Sam 70, owe Butemaliire mu Municipality ye Kamuli.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga North ASP Kasadha Mike agambye nti enfa yabwe tetegeerekeka, era emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro gisooke gyekebeggyebwe, balyoke bafune webatandikira okunoonyereza.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred