Abantu babiri bafiiridde mu Kabenje akagudde mu kabuga ke Buyaga ku Luguudo oludda e Lwakajula mu district ye Lyantonde.
Abafudde kuliko Barigye Alex ne YudaTadeo Gumisiriza bombi batuuze bo ku kyalo Kiyinda mu Ggombolola ye Kaliiro mu district ye Lyantonde.
Babadde batambulira ku Pikipiki ye Kika Kya Boxer number UAM 580Y, emmotoka ya district ye Lyantonde ey’amazzi nebatomera.
Munnabwe Lauben Kamwesigwa, abadde avuga Pikipiki eno atwaliddwa mu ddwaliiro ng’ali mu mbeera mbi.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Masaka Affadde Twaha Kasirye, agambye nti emirambo gyitwaliddwa mu ggwaniika lye ddwaliiro ekkulu erye Lyantonde, era nga ne police bweyongera okunoonyereza ekivuddeko akabenje.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane