Abantu 2 baffiiriddewo – Ttukutuku eyiingiridde Lukululana e Masaka – CBS FM

Date:

Abantu 2 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 2 nebadddusibwa mu ddwaliro ekkulu erye Masaka ng’embeera mbi,  Pikipiki  ezakazibwako Tukutuku bwetomereganye bwenyi ku bwenyi ne Loole Lukululana, mu kibuga Masaka mu kiro kya nga 25 August,2025.

Abafudde nga babadde ku ttukutuku kuliko dereeva waayo n’omusaabaze tebanategeerekeka mannya, ate abalala okuli Lubega Erick n’omulala atabadde nabimukwatako bebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwalattaka.

Akabenje kagudde mu kitundu ekimannyiddwanga New Nkumbu, okumpi n’enkambi ya police.

Ttukutuku No. UGG 746H ebaddeko abantu 4 ng’ebadde eva Masaka ng’edda Kyotera ku misinde egyayiriyiri, neyingirira lukululana ebaddeko enamba za Tanzania T888ECW/T194DZL.

Omwogezi wa police e Masaka Twaha Kasirye alabudde abagoba ba ttukutuku abasusse okuvuga endiima n’okuvugisa ekimama nti beddeko okutaasa obulamu.

Bisakiddwa: Tomusange Kayinja

Share post:

Popular

Also Read

Prima Kardarshi Explains Why She Lives Separately From Her Boyfriend and Why She Avoids Weddings

Socialite and beautician Prima Kardarshi has given her stance...

Da Agent Shares Emotional Story of Growing Up Poor in Bwaise, Surviving on Jackfruit Seeds

Lugaflow rapper Da Agent, real name Ivan Wabwire, has...

MamiDeb Considers Having Children Through Surrogacy and Adoption Following Cosmetic Surgery

Businesswoman and reality TV star, MamiDeb, real name Deborah...

How GROW Project business clinics will empower female entrepreneurs – Xclusive News

​KAMPALA, UGANDA:– In a significant move to bolster the...