Akabenje kagudde mu kitundu ekimannyiddwanga New Nkumbu, okumpi n’enkambi ya police.
Ttukutuku No. UGG 746H ebaddeko abantu 4 ng’ebadde eva Masaka ng’edda Kyotera ku misinde egyayiriyiri, neyingirira lukululana ebaddeko enamba za Tanzania T888ECW/T194DZL.
Omwogezi wa police e Masaka Twaha Kasirye alabudde abagoba ba ttukutuku abasusse okuvuga endiima n’okuvugisa ekimama nti beddeko okutaasa obulamu.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja