Eggye ly’eggwanga erya UPDF lironze abantu babiri abawereddwa obuvunaanyizibwa bwokulabirira n’okuddukanya emirimu gy’eddwaliro eryaziimbiddwa eggye ly’eggwanga eriyitibwa UPDF National Referral Hospital erisangibwa e Mbuya mu Kampala.
Abalonddeddwa ye Col Ronald Nangamba nga senkulu ne Col Dr John Lusiba okubeera omumyuka we.
Ababiri bano banjuddwa eri olukiiko lwa UPDF olutudde e Mbuya.
Atwala eby’obujjanjabi mugye lye ggwanga Maj.Gen Ambrose Musinguzi asabye abawereddwa obuvunanyizibwa okubukola obulungi okusigala nga ekitibwa kya updf kivaayo bulungi.
Eddwaliro lino lisubirwa okuggulwawo nga mu butongole mu October,2025 nga President Museveni yasuubirwa okuliggulawo.#