Abaasomera ku Trinity College e Nabbingo mu kibiina kyabwe ekya Trinity College Nabbingo Old Girls Association banjudde enteekateeka z’emizannyo gyabwe (Sports Galla) egy’omulundi ogw’okusatu eginaabaawo nga 30.08.2025 ku UICT e Nakawa.
President waabwe Nassiwa Marie Solome agambye nti balina ekiruubirirwa ky’okukuηaanya ensimbi obuwumbi 14 okuzimba essomero lya primary, erya Trinity College Nabbingo Junior School okuyambako ku mwana omuwala omuto.
Okwetaba mu mizannyo gino ogula omujoozi gwa 55,000/= eri abaasomerayo n’ababaagaliza ebirungi.
Munnamateeka wa CBS Vivian Namale ku lwa CBS ng’abamu ku bavujjirizi b’emizannyo gino yeeyamye nti CBS yakuwagira n’okusaasaanya amawulire agakwata ku mizannyo gino okuyita ku mpewo ne ku mutimbagano.#