Abaakuliddemu okulonda akamyufu ka NRM mu district ez’enjawulo batuula bufoofofo – president Museveni aliko by’alambise – CBS FM

Date:

President wa Uganda era ssentebe wa NRM mu ggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yerayiridde okukwata  abaakuliddemu okulonda akamyufu ka NRM ku districts, ebibuga ne munisipaali  abakyuusiza ebyavudde mu kulonda,  nebalangiriramu abantu abakyamu.

President Museveni mu kiwandiiko kyafulumizza, ku bikwaata ku kamyuuka ka NRM akaakubwa ku Thursday nga 17 July,2025, asoose kuyozayoza bannnaNRM okwetoloola eggwanga olw’okwetaba mu kamyuufu kano, kagambye nti abalonzi ba memba ba NRM obukadde obusoba mu 9 bebaalonze.

Agambye nti obukadde 9 bubeera bukola ebitundu 50% ku muwendo gwabawagizi ba NRM abali eyo yo mu million 18.

Wabula avumiridde ebikolwa ebyefujjo, okugulira abalonzi okubba obululu, okukuba abantu n’okukyuusakyuusa obuwanguzi bw’abalala ebyettobekedde mu kalulu Kano, n’amannya g’abalonzi abamu obutabeera ku nkalala z’abalonzi nga ne mukyala we Janet Kataha Museveni yoomu ku bataabadde ku nkalala, wadde ng’okuva mu 2005 abadde alondera e Ireenga mu district ye Ntungamo, naye yesaanze yawanduukuluddwa mu nkalala.

Mzei Tibuhaburwa museveni agambye nti ebikolwa ebyo Misango gyennyini egirambikidwa mu mateeka.

Abakulira eby’okulonda  abakyuusakyuusizza ebyavudde mu kulonda mu bitundu ebyenjawulo,  agambye nti bagenda kubayigga omu kwoomu bavunaanibwe.

Okukyuusakyuusa ebyavudde mu kulonda kwakamyuufu ka NRM kuzze kuwulirwa mu district ez’enjawulo, okuli Kamuli, Namutumba, Rubanda, Rwampara, Mbarara, Ntungamo , Isingiro ,newalala.

President Museveni nga yakafulumya  ekiwandiiko,  ab’ebyokwerinda bakutte ba registrar ba NRM mu districts okuli Mbarara ne Rwampara, nga  kigambibwa nti babadde bagezaako nti okubba empapula okwalangiriddwa ebyavudde mu kulonda kwebakuliramu mu districts ezo.

Kigambibwa nti babadde bagezaako okubibba ku police ye Nyeihanga  gyebyabadde byatwaliddwa.

Abakwatiddwa kubaddeko Jackson Mutahi registrar wa NRM mu district ye Rwampara ne Sebuuma Kaweesa registrar wa  NRM e Mbarara.

BannaNRM bangi bazze bemulugunya olw’ebikolwa ebyeffujjo ebyeyolekedde mu kamyufu kaabwe, akaabaddemu n’okukuba abantu embale era abamu bakyali mu malwaliro, nga mubeemulugunyizza mulimu ne ba minister abaawanguddwa n’ababaka ba parliament ababaddeyo.

Mu ngeri yeemu president Museveni wawaandiikidde ekiwandiiko kino nga avumirira effujjo, okubba obululu,okukuba abantu nokuyiwayiwa ensimbi, kizze mu kiseera nga bannabyabufuzi mu bibiina byobufuzi ebivuganya government kyebaggye bavumirire ebikolwa byebimu, byebagambye nti bibeeraliikirizza  nnyo nti byebyolekedde okubeera mu kalulu ka bonna akomwaka ogujja 2026.#

Share post:

Popular

Also Read

Azawi releases new single “Njize Okwagala” off lost files project

Multi-talented singer-songwriter Azawi has today released her brand-new single,...

Videographer Edrine Paul proposes to girlfriend, Desire Millionaire’s Girlfriend

Congratulations are in order for renowned video director Edrine...

Bebe Cool reveals why he had liposuction surgery to remove stomach fat

Musician Bebe Cool revealed that he had undergone liposuction,...

Absa Fuels Digital Payments with UGX40M Card Rewards – UG Standard

Kampala, Uganda – Absa Bank Uganda has distributed 40...
Verified by MonsterInsights