1905 – 2025 – CBS FM

Date:

Omulabirizi we Namirembe kitaffe mukatonda Rt Rev Moses Banja yakulembeddemu okusaba okujjukira emyaka 120 bukyanga essomero lya Gayaza High school litandikibwawo

Ku mukolo guno wabaddewo  nookutongoza ekizimbe kya WARREN HOUSE ku ssomero lya Gayaza High School mu district ye Wakiso.

Ekisulo ky’Abayizi ki Worren House,  ekibbuddwa mu mukyala Shillah Worren eyali munnabyanjigiriza eyatandikawo Gayaza Junior School ne Gayaaza High School mu 1905.

Mu ngeri yeemu abayizi 36 bebasiddwako emikono ku mukolo guno.


Emikolo gyino gyetabiddwako omumyuka owookubiri owa Katikkiro era nga ye muwanika w’Obwakabaka Owek Rotarian Past district governor Robert Waggwa Nsibirwa.

 

Owek.Waggwa asoomozeza abazadde abaami abayitirizza okwesamba ensonga z’abaana nebazirekera abakyala bokka kyokka ng’ebintu ebirala babiwa obudde kyagamba nti kyabulabe nnyo eri ebiseera by’abaana ebyomumaaso.

 

Juliet Muzoora Kaminsona okuva mu ministry y’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku massomero ga Secondary, akakasizza nti ministry y’ebyenjiriza yatandise kaweefube ow’okuddaabiriza amassomero gwannansangwa, nga Gayaza High school lyerimu kugagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno .


Robinah Kizito omukulu w’essomero lya Gayaza High School asiimye obwakabaka bwa Buganda olwokuteeka kumwanjo ensonga z’okusoma kw’abaana naddala abawala nga obwakabaka bwawaayo ettaka essomero lino kweritudde e Gayaza.

Agambye nti Omuwendo gw’Abayizi gwongedde okulinnya okuva ku Bayizi 4 abatandika ku ssomero lino mu 1905, okutuuka ku Bayizi 1700 mu mwaka 2025.

Gayaza High school yatandika n’ettabi ly’abaana abato erya Gayaza Junior School oluvannyuma nerigaziwa nekweyongerako High school.

 

Obulabirizi bwe Namirembe bwawaddeyo yiika z’ettaka 20 okwongera okugaziya Gayaza High school etandikewo ettabi eddala e Jungo mu Wakiso, era nga ne Gayaza Junior yatandikayo dda ettabi eddala mu kitundu kye kimu.

Bisakiddwa:Tonny Ngabo

 

Share post:

Popular

Also Read

Parliament Passes Motion to Prioritize Sickle Cell Funding

KAMPALA, Uganda — Uganda’s parliament has adopted a motion...

Stanbic Bank pledges financing and internships for youth at university career fair

KAMPALA, Uganda — Stanbic Bank has committed to providing...

Rapper St Nelly Sade Undergoes Successful Hernia Surgery After Years of Pain

Renowned rapper St Nelly Sade has undergone a successful...

Chance Nalubega Accuses The Orchard Music of Claiming Her Music Without Permission

Veteran musician Chance Nalubega was shocked to discover she...