Ttiimu y’essaza Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Buluuli ekubye Buddu goolo 1-0 mu kisaawe e Migyera, era kati Buluuli ewezeza obubonero 8 kwebasibaganye ne Buddu.
Busiro nayo eyongedde okunnyika Gomba bwe bagudde amaliri ga goolo 1-1 e Ssentama.
Kyaggwe ekubye Kabula goolo 1-0 e Mukono.
Kkooki egudde maliri ne Butambala goolo 1-1 e Kasambya Kyotera.
Mawogola egudde maliri ne Ssingo 0-0 e Ssembabule.
Mawokota egudde maliri ne Kyadondo 0-0 e Buwama.
Bugerere egudde maliri ne Bulemeezi 0-0 e Ntenjeru.
Emipiira gigenda kuwumulamu sabiiti emu, oluvanyuma lw’omutendera gwa round esooka okukomekerezebwa olwa leero ga 27 July,2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe